Abo abliimba mu lujjude, abo abamenya okusuubiza kwabwe awatali kwejjusa, abo abatuunda ebintu ebibi ebicupuli, abo abasanyuka nga balaba filimu n’okuwuliriza omuziki, abo abanyiiiza abasiraamu nga bezanyiriza; bonna balina okutwaala akaseera okulowooza ennyo era bafumiitirize ku bikolwa byabwe bino. Kiki ekina tutuuka ko butya Allah عَزَّوَجَلَّ nOmwagalwa we Nabbi صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم batunyigidde? Butya tufiirwa obukkiriza bwaffe olw’okukola ebibi, era geyena nafuuka obuddo bwaffe?
Muggule emitima gyammwe n’obwongo era muwulira Āyaĥ eno, Allah عَزَّوَجَلَّ agamba mu ayah ya - 82 nd eya Sūra-tuṭ-Taubaĥ:
فَلۡیَضۡحَکُوۡا قَلِیۡلًا وَّ لۡیَبۡکُوۡا کَثِیۡرًا ۚ
‘Bwe kityo balina okuseka katono ate bakaabe nnyo.’
Ḥujja-tul-Islām Sayyidunā Imām Muḥammad Ghazālī رَحْمَةُ اللهِ تَعَالٰی عَلَيْه yagamba mu Mukāshafa-tul-Qulūb nti Nabbi Sayyidunā Ya’qūb عَـلَيْـهِ الـسَّـلاَم yali wamukwaano ne Malayika w’Okufa [Malak-ul-Mawt] Sayyidunā ‘Izrā-aīl عَـلَيْـهِ الـسَّـلاَم Lumu malayika Sayyidunā ‘Izrā-aīl عَـلَيْـهِ الـسَّـلاَم yajja, Sayyidunā Ya’qūb عَـلَيْـهِ الـسَّـلاَم namubuuza, ‘Ozze kunkyaalira oba okutwala omwooyo gwange?’ Yaddamu, ‘Okuku sisinkana.’ Sayyidunā Ya’qūb عَـلَيْـهِ الـسَّـلاَم yamala nasaba, ‘Nga tonnaba kujja kutwaala mwooyo gwane, nsindikira ababaka abamu (okundabula)’, Malayika w’Okufa, Sayyidunā ‘Izrā-aīl عَـلَيْـهِ الـسَّـلاَم yakkiriza, ‘Nja kukusindikira ababaka babiri oba basatu.’