Jjukira! Cuntekisi (langi w’enjala)ateeka olubuubi olubika ku njala [era nekiziyiza amazzi okutuuka ku njala] ekitegeeza nti teri Wuḍū yadde Ghusl etuuka, era mu ngeri eyo kita/kiyonoona-e-Ṣalāĥ.
Nkubiriza banyina abasiramu bonna okwambala Madanī Burqa[1] n’okukozesa gilavuzi ne sokisi [ng’enyambala yabwe]. Tolaga yadde ngalozo oba wansi w’ebigere eri ba NaMahram.
Allah atutaase, bwoba nga olina eṢalāĥ gyewaleka oba okusiiba ennaku ezimu [eza Ramaḍān], zibale era ozisasule. Wenenyeze okulwaawo okwo nakwo. Okuyiga ku ngeri y’okusasula eSalāĥ ekuyiseko, gula akatabo akayitibwa ‘The Method of Performing Qaḍā Ṣalāĥ’, okuva mu ttabi lyonna erya Maktaba-tul-Madīnaĥ. Kija kubeera kirungi nnyo bw’ogula ekitabo ‘Laws of Ṣalāĥ’[2]. Ekitabo kino kirina ebyetagisa okumanyibwa ku Wuḍū, Ghusl, Ṣalāĥ, ne Ṣalāĥ ekuyiseko. Kisobokera ddala nti bwomala okusoma ekitabo kino ojakwejjusa engeri gyewali ewala ennyo okuva ku nfuna entuufu eya Wuḍū n’engeri entuufu e’okusaala eSalah.
صَلُّوۡا عَلَى الۡحَبِيۡب صَلَّى اللّٰهُ تَعَالٰى عَلٰى مُحَمَّد
Ab’oluganda abasiraamu bona balina okulaga ebiruubirirwa byabwe nga balangirira اِنْ شَــآءَالـلّٰـه عَزَّوَجَلَّ - mu ddoboozi elya waggulu,