1. Nzekka mu bulamu obweyawuliridde, nga nnoonya okusasirwa ebibi byange era n’ensi empambye,
2. Ndowoozeza ku bbanga ly’okulamula kwange, era butya ekitabo ky’emirimu gyange bwekija okuleetebwa, obuswaavu obwo.
3. Naye Owange Katinda era Omugabi! Nnina esuubi ely’okufuna Okusaasira kwo [Raḥmat]; Ebibi byange gwe wekka asobola oku bijawo. (Mukāshifat-ul-Qulūb, p. 22)
Abagalwa ab’oluganda abasiraamu! Ekyafaayo ekyo waggulu kirimu eby’okuyiga bingi. Abalongoofu bamala ebiseera byabwe byonna mu bulamu bwabwe mu kujjukira Allah عَزَّوَجَلَّ. Naye nweankubadde baali bagazi ab’olubeerera aba Allah, empisa z’obuwombeefu n’obwetoowaze byabaziyiza okwewaanira ku mirimu gyabwe egy’okusinzaa ate nezibateeka okukaaba amaziga mu kutya kwa Allah عَزَّوَجَلَّ. Ku ludda olulala, ababuyabuya tebalina yadda n’omulimu omulungi ogumu era bali wala nnyo okuva ku madaala g’obwamazima naye berowooza ko nti bawaggulu ate bewaanira ku mirimu gyabwe eby’eddiini. Abantu abalongoofu abeddala, newankubadde bali wala nnyo okuva ku bibi, bakankana mu kutya Allah عَزَّوَجَلَّ era bakaaba, naye ababuyabuya beyongera mu maaso n’emirimu gyabwe emibi, balaangirira ebibi byabwe mu lujjudde, era baseka nga bewaana mu kunyumya ku bujeemu bwaabwe. Mwegeendereze! Ḥujja-tul-Islām Imām Muḥammad Ghazālī رَحْمَةُ اللهِ تَعَالٰی عَلَيْه yagamba nti Sayyidunā ‘Abdullāĥ Ibn ‘Abbās رَضِىَ اللهُ تَعَالٰی عَـنْهُمَا yagamba, ‘Oyo yenna aseka ng’akola ekibi ajakuyingira geyena (omuliro) ng’akaaba.’ (Mukāshifat-ul-Qulūb, pp. 375)
صَلُّوۡا عَلَى الۡحَبِيۡب صَلَّى اللّٰهُ تَعَالٰى عَلٰى مُحَمَّد