اَلۡـحَـمۡـدُ لِـلّٰـہِ رَبِّ الۡـعٰـلَـمِیۡنَ وَ الـصَّـلٰـوۃُ وَ الـسَّـلَامُ عَـلٰی سَـیِّـدِ الۡـمُـرۡ سَـلِـیۡنَ
اَمَّـا بَــعۡـدُ فَـاَعُـوۡذُ بِـا لـلّٰـہِ مِـنَ الـشَّـیۡـطٰنِ الـرَّجِیۡمِ ؕ بِـسۡمِ الـلّٰـہِ الـرَّحۡـمٰنِ الـرَّحِـیۡمِؕ
Newankubade Shaytan ekuteeka okuwulira obugayaavu, soma ekitabo kano okuva kuntaandikwa okutuusa kunkomerero ng’omegga obukodiyo bwa Shaytan. اِنْ شَــآءَالـلّٰـه عَزَّوَجَلَّ, ojakuwulira enkyuukakyuuka ya Madani.
Kabaka wa Madīnaĥ صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ
وَاٰلِهٖ وَسَلَّم yagamba, ‘Abange abantu! Mazima, omuntu aja okuwona ennaku n’okubalibwa ku lunaku lw’enkomerero y’oyo eyali yansomera
Durūd mu bungi, ku nsi eno’.
(Firdaus
–bima’ Šaur-ul-Khitāb, pp.
471, vol. 2, ḥadiš. 8210)
صَلُّوۡا عَلَى الۡحَبِيۡب صَلَّى اللّٰهُ تَعَالٰى عَلٰى مُحَمَّد
Kigambibwa nti omuntu omulongoofu
omu lumu yafuna ettaffaaali lya zaabu. Nga asanyuse
nnyo era nga yewunya nnyo, yatandika
okulowooza ku gye bujja we. Yamala ekiro kiramba nga
alowooza; ku mmere empoomu, engoye ez’ebbeyi enungi ennyo, n’omuwendo
gw’abakozi omusaamusaamu abalindiridde okutuukiriza buli kyetaago kye.
Nga atwaaliddwa eky’obugagga kino ekipya ky’afunye ate nga afumiitiriza ku bulamu obwagazisa, yasigala nga mubuyabuya