era nga yerabide Allah عَزَّوَجَلَّ Ow’ekitiibwa. Kumakya okwaddako bweyava ewaka we, nga atwaliddwa ebirowoozo ku mikisa egyaali gimurindiridde, yatuuka ku malaalo.
Eyo, yalaba omusajja eyali akola akadoongo waggulu w’entaana, okukola amataffaali. Mu bwangu ddala, omusaja yadda mu birowoozo bye, era olujiji olw’obubuyabuya lwajibwawo. Yatandika okukaaba nga bwalowooza, ‘Olunaku lumu abantu abalala baja kukola amataffaali okuva ku ttaka ly’entaana yange nange. Ndabye! Enyumba yange ey’ebbeeyi n’ebyambalo eby’ebbeeyi byonna bija kulekebwa emabega. Bwenemalira ku bulamu obwagazisa obuletebwa etafaali lino elya zaabu, kija kunteeka okuwangaala obulamu obw’obubuyabuya. Bwemba nnina okwagala, nnina okwagala Allah عَزَّوَجَلَّ wange.’ Nolwekyo yaleka etafaali elyo elya zaabu (golodi) era nasalawo okuwangaala obulamu obw’okutya mungu [Zuĥd], obujjude okwelekereza.
صَلُّوۡا عَلَى الۡحَبِيۡب صَلَّى اللّٰهُ تَعَالٰى عَلٰى مُحَمَّد
Abagalwa ab’oluganda abasiraamu! Mazima, emikisa gy’okugwa mu bubuyabuya mingi nnyo ng’olina eby’obugaga ebingi ennyo eby’oku nsi. Oyo eyegomba ebirungi by’oku nsi agudde mu mutego gw’obubuyabuya. Obubuyabuya buteeka omuntu okubeera ewala okuva ku Allah عَزَّوَجَلَّ. Bizinesi kyengera, obugagga kyengera, enyumba enungi eyeyagaza nakyo kyengera, emmotoka ey’ebbeeyi nakyo kyengera, abaana nabo kyengera, naye okwemalira mu kyengera ky’oku nsi okutuuka n’okwelabira Allah عَزَّوَجَلَّ kireeta obubuyabuya. Allah عَزَّوَجَلَّ agamba mu Qurān, Juz ya 28, Sūra-e-Munāfiqūn, Ayaah 9