okunsindikira, nga tonnaba kutwaala mwooyo gwange?’, malayika, the angel Sayyidunā ‘Izrā-aīl عَـلَيْـهِ الـسَّـلاَم yaddamu, ‘Envi oluvanyuma lw’enviiri ezirugavu, obunafu oluvanyuma lw’amaanyi, n’omu goongo ogwewese oluvanyuma (lw’omugumu) omutereevu; Owange Ya’qūb عَـلَيْـهِ الـسَّـلاَم Bano be babaka bange, bensindikira abantu nga tebannafa.’ (Mukāshifat-ul-Qulūb, pp. 21)
Ekitontome kino eky’Oluwarabbu kitulabula:
مَضَى الدَّهۡرُ وَالۡاَيَّامُ وَالذَّنۡۢبُ حَاصِلٌ وَجَآءَ رَسُوۡلُ الۡمَوۡتِ وَالۡقَلۡبُ غَافِلٌ
نَعِيۡمُكَ فِى الدُّنۡيَا غُرُوۡرٌ وَّحَسۡرَةٌ وَعَيۡشُكَ فِى الدُّنۡيَا مُحَالٌ وَّبَاطِلٌ
Ennaku ziyise naye ebibi byebisinga,
Malayika w’Okufa azze naye omutima mwonoonefu.
Eby’okwewunda byammwe eby’oku nsi byabulimba era kulwa bbyo mujakubeera mu bulumi
Okwagala kwammwe okubeera mu nsi lubeerera kirowoozo ekitagasa.
صَلُّوۡا عَلَى الۡحَبِيۡب صَلَّى اللّٰهُ تَعَالٰى عَلٰى مُحَمَّد
Obulwadde nabo bubaka bwa kufa
Abagalwa ab’oluganda abasiramu! Kati tutegeera ekya mazima nti Malayika w’Okufa asindika ababaka nga okufa tekuna tuuka wo. Okugata ku babaka abo abasatu ab’ogedwako waggulu, waliyo abalala ab’ogedwako mu Ḥadīš endala; nga obulwadde, okubulwa okulabira ddala oba obunafu bw’okulaba, n’obuzibu mu kuwulira. Waliwo bangi mu ffe abasisinkanye amubaka wa Sayyidunā ‘Izrā-aīl’s Tulabye! Naye kiki kyetunakolera obubuyabuya bwaffe! Embeera yaffe gyetulimu eri nti tugamba nti envi ziva ku ssenyiga, naye nga amazima zitulabula ku kufa! Mu ngeri y’emu mu bulwadde tusigala