omuziki, n’abo abawuliriza okugeya kwabalala balina okwenenya mangu ddala kubanga ebibonerezo by’ebibi bino tebiyinza kugumirwa.
Ḥujja-tul-Islām, Imām Muḥammad Ghazālī رَحْمَةُ اللهِ تَعَالٰی عَلَيْه yagamba, ‘Oyo yenna ajjuza amaazo ge ne Ḥarām [i.e. ng’alaba ebitaki rizibwa], amaaso ge gaja kujjuzibwa omuliro ku lunaku lw’enko merero.’ (Mukāshifatul-Qulūb, p. 10)
Omumanyi wa Ḥadīš amanyikiddwa ennyo era Omulongoofu mu omunene mu ba Shāfi’ī Ow’ekitiibwa Shaykh Jalāl-ud-dīn Suyūṭī Shāfi’ī yagamba, ‘Nabbi Ow’emikisa صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم yalaba abantu abalina emisomaali nga kikomereddwa mu maaso ne mu matu gabwe. Yategezebwa nti ‘Baalaba ebyo byotalaba ate nebawuliriza ebyo byoatawuliriza’ (Sharaḥ-us Ṣudūr, pp. 171)
Nolwekyo abantu abalaba era ne bawuliriza ebintu bya Ḥarām bajakubeera n’emisumaali nga ki komereddwa mu maaso ne mu matu gabwe. Mwetegereze! Kiri Ḥarām eri abaami okutunuulira abakyaala ate eri abakyaala okutunuulira abaami n’amaddu amabi, ate buli kikolwa kya Ḥarām kikutwaala mu muliro.
Abagalwa ab’oluganda abasiraamu! Kiri Ḥarām okusalako ekirevu oba okukisala okukira obuwanvu bw’ekikonde. Sayyidunā Imām Muslim رَحْمَةُ اللهِ تَعَالٰی عَلَيْه yagamba nti Nabbi صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم yatulabula, ‘Musaleko amasulubu gammwe; muleke ebirevu byammwe okukula era temufaanana / temugeegeenya abasiinza omuliro.’
(Saḥīḥ Muslim, pp. 129, vol. 1)