Lwaaki wetala wano ne wali; ng’ate mirimu gyokka gyegijja okkugasa.
Amaanyi ga Namrūd gali ludda wa; ennamulondo ya Faraawo eri wa
Buli omu yaleka buli kimu emabega; buli kimu kifa, bwoba ng’otegeera
Omwagalwa wange; olunaku malayika ‘Izrā-aīl lwenaja
Ojakugenda wekka, teri ajakugenda naawe
We bbinkidde mu by’oku nsi; oli mubuyabuya ku kujjukira
Olinga agamba nti ensi teri gwaawo era terina nkomerero
Owange muddu tobeera mubuyabuya; tewekuluntariza ku bulamu buno obugwaawo
Jjukira Rab wo buli kaseera; kino kyokka kyekijja okukugasa.
Ḥujja-tul-Islām Imām Muḥammad Ghazālī رَحْمَةُ اللهِ تَعَالٰی عَلَيْه yagamba, mu Mukāshafa-tul-Qulūb, nti Sayyidunā Shaykh Abū ‘Alī Daqqāq رَحْمَةُ اللهِ تَعَالٰی عَلَيْه yagamba, ‘Omulongoofu omu omunene lumu ya lwaala, era nageenda oku mulambula. Bwenatuuka yo, nnalaba ekibinja ky’abagazi be nga bamwetolodde, era Wali oyo yali akaaba amaziga. ‘Owange Shaykh! Okaaba kubanga ova ku nsi eno?’ Yaddamu ‘Nedda, nkaaba kubanga ndese-e-Ṣalāĥ yange.’ Nabuuza, ‘Naye waleka otya-e-Ṣalāĥ yo?’ Ye رَحْمَةُ اللهِ تَعَالٰی عَلَيْه, yaddamu, ‘Buli lwenavunnama [Sajdaĥ] nail mubuyabuya, buli lwenasitula omutwe gwange okuva ku kuvunnama nail mubuyabuya, ate kati ndi mukufiira mu mbeera y’obubuyabuya.’
1. Yamala nassa ekikkoowe okuva mu ntobo y’omutima gwe n’asoma ekitontome ky’Oluwarabbu, enzivvunnula eribweeti:
2. Nalowooza ku kuzuukira, okulamulwa n’entaana yange