Obubuyabuya

adīš eno eyita abasiraamu okuzuukusa entegeera yabwe; abaffe tekyewunyisa abantu okugamba nti bagala nnyo Nabbi صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم, naye nga begoomba abalabe be.

Ani gwolina okwebikiririra?

Banyina bange abasiramu, abampuliriza emabega w’olutiimbe.

Mwetegeereze! Obuta bikka bulungi mibiri gyammwe kiri arām. Okutunula n’obwagazi eri omusajja Na-Mahram  nakyo kiri arām  ate ebikolwa bwebiti bitwaala omuntu mu Muliro gwa geyena. Abasajja balina okwawala okutunuulira abakazi ate bewale okusisinkana okutalina mugaso [okuyimirizaawo Pardaĥ] n’abakazi ba kizibwe ne bakyaala ba bataata babwe. ‘Pardaĥ’ y’emu erina okugobererwa wakati w’omusajja n’ebanyina ab’omubufuumbo ate ne wakati w’omukazi n’omuko. Ekya mazima, empisa y’emu erina okugobererwa wakati w’omukazi ne Shaykh [Murshid] we. 

Omukazi talina kunywegera ngalo za Shaykh we; tasobola nakuleka mukono gwe kuteekebwa ku mutwe gwe [okufuna emikisa]. Abawala balina okugoberera ‘Purdah’ nga batuuse ku myaaka 9, ate abalenzi balina okugigoberera nga batuuse ku myaaka 12. 

Ebibi by’okugoberera emitendera egyaganibwa

Nabbi Omutukuvu صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم yagamba, ‘Ku kiro kya Mairāj  [okwambuka] nnalaba ennimi z’abasajja nga zisalibwa ne makaansi, bwenabuuzaa,’ Bano abanti be b’ani?’ Malayika Jibrīl [Gabriel]  yaddamu, ‘Bewuunda, ku nsi, n’ebyo ebintu ebyaganibwa.’ Okweyong erayo Nabbi Omutukuvu صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم agamba, ‘Nnawulira n’amaloboozi ag’ebiwoobe n’okuwoggana okuva mu kinnya ekiwunya obubi.’ Sayyidunā Jibrīl عَـلَيْـهِ الـسَّـلاَم yanyonyola,’ bano b’ebakazi abaali bewuunda n’ebintu ebyaganibwa.’

(Tarīkh-u-Baghdād, pp. 415, vol. 1)

 

Index