tuli mu bubuyabuya, ate netwealabira abantu abatabalikika abafa buli lunaku olw’ensonga zezimu. Katono nnyo tetulaba nti obulwadde obulabika nga ‘obutono’ busobula okutta era abagalwa baffe baja kunakuwala ate abalabe basanyuke, naye omufu ajakuziikibwa mu ntaana ey’ekizikiza wamu n’emirimu gye gyokka, emirungi oba emibi.
Jjukira! Oyo yenna agwa mu mutego gw’obubuyabuya era neyeyongera okukola ebibi avude ku kkubo lye era aja kubulira mu kizikiza ky’ebibi. Allah عَزَّوَجَلَّ ne Rasūl we صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم bwebanyiiga, olwensinga eyo, aja kubonerezebwa mu ntaana era n’ebibonerezo bya Akhirat.
Olwo okwejjusa n’okuwulira ennaku tebija kugasa. Okyalina omukisa, wenenye mu butuufu bw’okwenenya era otnadike okuwangaala obulamu bwa Sunnaĥ. Nabbi waffe صَلَّى اللهُ تَعَالٰى عَلَيْهِ وَاٰلِهٖ وَسَلَّم yatulabula: ‘Oyo yenna aleka-e-Ṣalāĥ emu, elinnya lye lijakuwan diikibwa ku lujji lwa Geyena (Omuliro) mwajja okuyita aguyingire.’
(Ḥilyat-ul-Awliyā, pp. 299, vol. 7, ḥadiš. 10590)
Mu ngeri y’emu kigambibwa mu Hadis endala, ‘Oyo yenna aleka okusiiba olunaku mu Ramaḍān, nga takiriziddwa Sharī’aĥ oba ku lw’obulwadde; ayinza okusiiba kwonna kwayagala oluvanyuma naye, ezo (ensiiba) tezija kwenkanankana kusiiba okwo okumu, newankubade nga asasudde olunaku olw lweyali tasiibye.’
(Jāmi’ Tirmiżī, pp. 175, vol. 2, ḥadiš. 723)
Abo abatunuulira abakyaala, abo bakaggwa ensonyi abegomba abavubuka n’obwagazi, abo abalaba filimu ku TV, abo abawuliriza