emmaali yange yonna. Nja kusaala-e-Ṣalāĥ zange zonna, nga njegatirako mu Jamā’at mu Rak’at esooka [i.e. Takbīr-e-Aulā].... Sija kusubwa Taĥajjud [Okusaala kw’ekiro] Ṣalāĥ.... Amazima, nja kufuula Masjid nga bwe bulaalo bwange… Nja kusigaza enviiri za Sunnaĥ [Zulfayn] okugatako n’ekirevu ekyenkana ekikonde… Nja kwambala ekitambaala [‘Imāmaĥ] ku mutwe gwange essawa yonna… Ayi Allah عَزَّوَجَلَّ – nzizaayo, mpa omukisa omulala. Nja kutaasa ensi okuva ku fashoni ate nsasaanye e Sunnaĥ.... Owange Rab wange, Allah عَزَّوَجَلَّ! Mpa pmukisa gumu gwokka. Nja kwewaayo okukola emirimu emirungi…..’
Ah! Bino ebiwoobe tebija kugasa abo abaali bamaze ennaku zabwe n’ebiro byabwe nga bakola ebibi. Qurān Entukuvu etulabula; Allah عَزَّوَجَلَّ agamba mu – Sūrah-e-Munāfiqūn, Ayaah eya 10 ne 11:
وَ اَنۡفِقُوۡا مِنۡ مَّا رَزَقۡنٰکُمۡ مِّنۡ قَبۡلِ اَنۡ یَّاۡتِیَ اَحَدَکُمُ الۡمَوۡتُ فَیَقُوۡلَ رَبِّ لَوۡ لَاۤ اَخَّرۡتَنِیۡۤ اِلٰۤی اَجَلٍ قَرِیۡبٍ ۙ فَاَصَّدَّقَ وَ اَکُنۡ مِّنَ الصّٰلِحِیۡنَ ﴿۱۰﴾ وَ لَنۡ یُّؤَخِّرَ اللّٰہُ نَفۡسًا اِذَا جَآءَ اَجَلُہَا ؕ وَ اللّٰہُ خَبِیۡرٌۢ بِمَا تَعۡمَلُوۡنَ ٪﴿۱۱﴾
‘Era muweeyo kw’ebyo byetubawadde nga okufa tekunna tuuka ku omu ku mmwe nagamba, ‘Rab wange! Lwaaki tewanindikiriza wakiri akaseera akatono, nsobole okuwaayo mu kkubo lyo era mbeere mw’abo abalongoofu?’ Era Allah عَزَّوَجَلَّ Tajakulindiikiriza mwoyo yadde n’ogumu nga ekisuubizo kituuse; ate Allah عَزَّوَجَلَّ Amanyi emirimu gyammwe.’
Dilā ghāfil naĥ ho yak dam yeĥ dunyā cĥor jānā ĥay
Baghīchay cĥor kar khālī zamīn andar samānā ĥay
Tayrā nāzuk badan bĥāī, jo layṫay saīg phūlawn par